SSEMBABULE
Ivan Ssenabulya
Kooti yamagye etude emisana ga leero mu lutuula olwenjawulo ku kitebbe kya district ye sembabule okuwozesa abajaasi bassatu abakwatiddwa ku byekuusa ku ttemu omwafiridde mutabani wa ssentebbe we ggombolola ye Lugusuulu eyakubiddwa amasasi agamusse.
Kigambibwa constable Canan Nkamuhebwa, yakidde Paul Tumukunde namukuba amasasai agamusse bwebafunye obutakanya mu bbaala.
Ono avunaniddwa gwa butemu ate Lass corporal Johnson Abasa ne Private Abel Katsigazi bavunaniddwa musango ogwokuyambako obutemu.
Abasattu bavunaniddwa mu tteeka lyamagye akawayiro ake 119 tteeka lyamagye wabula emisango egyibasomeddwa nebagyegaana.
Omugenzi Paul Tumukunde owemyaka 31, yabadde mutuuze we Kigando mu ggombolola ye Lusuulu nga mutabani wa Fred Kalakule ssentebbe we ggombolola.