Bya Gertrude Mutyaba
Ekifananyi: kijiddwa mu bikadde
Poliisi ngeri wamu n’ebitongole byebyokwerinda omuli amagye bakoze ekikwekweto mwebayooledde abatebrezebwa okubeera abamenyi b’amateeka 37 mu kibuga kye Masaka.
Ekikwekweto kino kikoleddwa mu gombolola ya Katwe-Butego mu bifo eby’enjawulo.
Abamu ku bakwate basangiddwa namajambiya, embazzi, ennyondo, enjaga, ebyuma ebisumulula emmotoka, emisokoto gya shisha n’ebirala, ebimenya amateeka.
Omubaka wa gavumenti e Masaka Joe Walusimbi yaakuliddemu ekikwekweto, agamba nti bakikoze okutereeza ekibuga Masaka.