Bya Damali Mukhaye
Ababaka mu lukiiko lw’eggwanga olukulu bagamba beetegefu okweyimirira mubaka munaabwe owa kyandondo East Robert Kyagulanyi asuubirwa okuleetebwa mu kkooti olunaku lw’enkya.
Kyagulanyi amanyidwa nga Bobi yasindikibwa e Luzira ku misango gy’okw’ekalakaasa ku musolo gwa OTT omwaka 2018.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku palamenti, omubaka wa Mukono municipaali Betty Nambooze ategezezza nga emu kunsonga ezabaweebwa ku kutwalibwa kwa Bobi wine e Luzira lwa butabaawo bamweyimirira.
Ono agamba nti omukulembeze w’oludda oluwabula gavumenti mu palamenti Betty Aol olunaku lw’enkya yagenda okubakulemberamu okulaga obumu eri omubaka wa Kyandondo East nga mungeri yemu beetegefu okumweyimirira.
Kati ono asabye poliisi okubakkirizza okutukirizza ensonga zaabwe.