Skip to content Skip to footer

Aba DP bagaanye okukkiriza ebyavudde mu kulonda

Bya Prossy Kisakye,

Ab’ekibiina kya Democratic Party, bawakanyizza ebyavudde mu kulonda kw’omukulembeze w’eggwanga waddenga bagamba nti tebagenda mu kkooti.

bwabadde ayogerako ne bannamwulire ku kitebbe kyekibiina mu Kampala, omwogezi wa DP Okoler Opio, agambye nti akakiiko kebyokulonda kawaddeyo obuyinza bwako bwonna eri ab’ebyokwerinda ne gavumenti mu kulonda okuwedde era nga tebewunya ebyavaamu.

Agambye nti wabaddewo okubba obululu, okutisatiisa abalonzi ne vvulugu omulala eyetobese mu kulonda.

Opio agambye nti obuyinza babulekedde bann-Uganda okwesalirawo ekiddako.

Leave a comment

0.0/5