Bya Damalie Mukhaye
Abekibiina kya FDC bategezeza nti bagala eyasli ssbapoliisi we gwanga Gen Kalekayihura anonyerezebweko mu bukulembeze bwe okumala emyaka 13 nebikolobero byatusizza ku bantu.
Bwabadde ayogera ne banamwulire ku kitebbe kyekibiina e Najjanakumbi, omwogezi wa FDC Ibrahim Ssemujju Nganda agambye nti abantu bangi abatiddwa ku mulembeze gwa Kayihura naddala mu bwegugungo.
Ono ayogedde ku maka gabanabyabufuzi agabaddenga gemulungululwa nokutulugunya abantu.
Ono wabula asabye nti essiga eddamuzi lyeribeera linonyererza, akiri wabangibweo akakiiko kabalamuzi 3 aba kooti enkulu okunonyereza ku bikolobero byonna.