Skip to content Skip to footer

Aba NRM bawakanyizza ekiwandiiko ekisaba emirimu

Bya Ivan Ssenabulya

File Photo: Justine Lumumba

Abekibiina kya NRM bawakanyizza ekiwandiiko ekibadde kiyitingana, ku mitimbagano nga kiraga nga ssbawandiisi  Justine Kasule Lumumba, bweyalanze emirimu egiri mu 500 mu mawanga ge bweru.

Mu kiwandiiko kino emirimu bajiranze mu mawanga nga Nigeria, South Africa, Canada, Austria namalala.

Wabula okusinziira ku mwogezi wekibiina kya NRM Rogers Mulindwa agambye nti walabika waliwo abafere abali emabega wekiwandiiko kino.

Ono agambye nti bano balina ekigendererwa okutattana ekifananyi kyabakulembeze mu kibiina.

Leave a comment

0.0/5