Bya Barbra Nalweyiso
Okulonda kwabakansala mu distulikiti ye Mityana kwatambudde bulungi wakati mu bukuumi obwamaanyi.
Wabula kwagenze okukomekerezebwa ngabavuganya gavumenti mu kibiina kya National Unity Platform bakukumbye, era nebawangula ebifo ebisnga naddala mu munispaali ye Mityana.
NUP ewagunde ebifo byonna muba kansala abakyala mu Mityana munisipalite omuli Busimbi division, Tamu division ne Central division ngekibiina kya NRM kyasobodde okuwangula ekifo kimu kyokka ekya kansala wabavubuka atuula obuterevu ku lukiiko lwa division.
Abamu ku bawanguzi betwayogeddeko nabo, basubizza nti bagenda kulwaana okutuusa obuereza ku bantu.