Bya Shamim Nateebwa.
Aba Rotary Club Uganda, wamu n’abakulira eddwaliro lya Nsambya, olwaleero baliko kawefube gwebatandise ow’okujjanjaba, okwekebejja n’okuwa amagezi abantu abalina obulwadde bwa kookolo ku obwerere.
Bano bagamba nti ekizibu kya kookolo mu Uganda, kyongedde okugoya abantu naye nga obuzibu buva kubannansi obutamanya kyakukola okwetangira kizibu kino.
Sister Stella Namatovu, akulira eby’emirimu mu ddwaliro lye Nsambya, agamba nti olusiisira lw’eby’obulamu luno lutegekeddwa nekigendererwa kyakudiza ku bantu nadala abo abaasonda ensimbi ezaagula ekyuma kino nga bayita mu misinde.