ByaRitah Kemigisa.
Abaaliko ba musaayi muto ba Democratic party kyadaaki bafunye ekifo e makerere awo ku Rugby grounds nga eno gyebagenda okuteeka tabamiruka waabwe.
Kinajukirwa nti bano batutte ebanga nga banoonye webagenda okuteeka tabamiruka waabwe, kino kyabaleetera n’okulowooza nti police yebayiganya.
Twogedeko n’omu kubano Dr Lulume Bayiga n’agamba nti olw’ebbula ly’ensimbi, nemitawaana gyonna gyebaayisemu, tabamiruka ono takyabadewo nga 2nd May , wabula kakano wakubaawo nga 23rd May.
Kati ono agamba nti ensonga zaabwe baziyisizza mu polisi , kale nga tebagisuubira kubataataganya.