Bya Ruth Anderah.
Bwetutandikirako mu kooti agavaayo galaga nga abasajja basatu abakozi ba Chicken Tonight wano e Kabalagala abaakuba omuyimbi Angela Katatumba bwebasimbiddwa mu kooti okukakana nga basindikiddwa e Luzira.
Abakozi abakaligiddwa kuliko Olubrworth Chuka Rogers owe myaka 26 nga ye maneger w’ekifo kino, Okirot Denis omukuumi ne Kaddu John .
Bano balabiseeko mu kooti ye Makindye mu maaso g’omulamuzi Elias Kakoza boona nebeegana emisango gino.
Obujulizi obuleeteddwa bulaze nti nga 1st April 2018, wano e Kabalagala Makindye bano baakuba katatumba bweyali azze okugula enkoko mukifo kino tebaakoma okwo nebamubako obukadde 6.2
Kati bano basibiddwa okutuusa nga May 4th 2018 , nga police bwenonyereza.