Bya Abubaker Kirunda
Katemba yeyolekedde ku kyalo Buseki mu gombolola ye Buyengo e Jinja abaana 8 bwebekunze nebakuba kitaabwe olwokuwasa omukazi omulala.
Abaana bano bavudde mu mbeera nebagoba Patrick Mangwa okuva mu nnyumba mwabadde yawasirizza omukazi omulala.
Ssentebbe we’kyalo kino Yeko Bamuwe agambye nti bamuloperako ensonga zino, ngabaan babanja babawe ekyapa kyettaka ennyumba wetudde.
Wabula ssentebbe anyenyezza nnyo abaana olwokweyisa mungeri bweti, nebatuuka nokukuba kitaabwe olwebintu.