MUKONO
Bya Ivan Ssenabulya
Abaana be ssomero lya Nursery e Seeta babbiri bebafiridde mu kabenje, ekimotoka ki lukululana kwekiwabye nekiyingirira akasomero akali ku kkubo.
Omwogezi wa poliisi yebidduka Charles Ssebambuliidde ategezezza nti ki lukululana kibadde kiyimiridde ku kubo, kyoka omugoba wakyo teyakitaddemu Handa Buleeki, nga kyetegudde nekitomera emmotoka noluvanyuma nekirumba essomero abaana ababadde bayingira nekibagoya.
Abaana abafudde kubadeko Joseph Irakut owemyaka 5, ne Jean Kansimire owemyaka 3, nga babade bayizi ba Waterloo International Kindergarten and Day Care e Seeta.
Emmotoka ekoze omutawana guno ebadde lukululana number ZD- 6,774.
Omukozi ababdde awerekeddeo abaana bano naye alumiziddwa.
Emirambo gitwaliddwa mu gwanika e Mulago, songa yye omugoba we mmotoka poliisi etegezezza nti akwatiddwa ayambeko mu kunonyereza.
Ate mungeri yeemu, waliwo omusirikale wa poliisi afiridde mu kabenje wali e Lugazi amakya ga leero.
Okusionziira ku mwogezi wa poliisi mu bitundu bya Ssezibwa, Hellen Butoto, omusirikale wa poliisi yebidduka Joseph Philly Okuti atomeddwa akamotoka ka buyonjo namba UAM 527/W bwabadde alungamya entamabula ye mmotoka ku nkulungo e Namagunga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja.
Akabaneje poliisi ekatadde ku kuvisa kimamama, ngomugoba wa mmotoka talaze ludda lwabadde addako.
Omugenzi afudde bwabadde yakatusibwa mu ddwaliro e Mulago.
Kati dereva wa mmotoka eno poliisi emukutte, ngakumibwa ku CPS e Lugazi.