Skip to content Skip to footer

Abaasoma bebasinga okwanguwa okugaba enguzi.

Bya Moses Ndaye.

 

 

Waliwo okunonyereza okukoleddwa nekizuuka nga abantu abasomyeko wano mu gwanga ate bwebakyasinze okwanguwa okugaba enguzi .

Okunonyereza kuno okwakoleddwa aba Uganda National Bureau of Statistics ku by’obukulembeze, edembe kko n’obutebenkevu eraze nga abantu abaasoma abakola ebitundu 16 % bwebaali bagabye kunguzi.

Twogedeko n’akulira ekitongole kino Paul Mungereza nagamba nti ebizuuliddwa bigenda kuyamba  parliament okukola amateeka agagenda okulwanyisa enguzi mu gwanga.

Bano mungeri yeemu bagamba nti ebbula ly’emirimo, enjala, n’obwavu bw’ebiviirideko abantu okubeera mukweralikirira okutagambika buli kadde.

Leave a comment

0.0/5