Skip to content Skip to footer

Ababaka 3 abaali bagobwa bakudda mu palamenti

Bya Kyeyune Moses

Omumyuka womukyubiriza wolukiiko lwe gwanga olukulu, Jacob Oulanyah ajjeewo ekkoligo eryali lyatekebwa ku babaka abamu aboludda oluvuganya gavumenti.

Ababaka 3 okuli owa minispaali eye Kira Ibrahim Ssemujju Nganda, owa munispaali eye Ntungamo Gerald Karuhanga nowa Kilak North Anthony Akol bebataguluddwa.

Wabula 3 abasigadde okuli Allan Sewanyana owa Makindye West, Mubarak Munyagwa owa Kawempe South nowe Erute South Jonathan Odur ebiakwatako tebinamanyika.

Okusinziira ku Oulanyah, Ssemujju nababaka bano 2 bakukirizibwa okwetaba mu ntuula za palamenti, okutandika nolwenkya.

Kinajjukirwa nti ababaka 6 nga December 18, 2017 bamufumuulwa omukubiriza wolukiiko lwe gwanga olikulu Rebecca Kadaga, mu palamenti mu kuteesa ku byokujja ekkomo, olwebigambibwa nti beyisa mungeri etasaana.

Leave a comment

0.0/5