Skip to content Skip to footer

Ababaka bavumiridde obulumbaganyi mu South Africa

Bya Kyeyune Moses, Palamenti ya Uganda yegasse kunsi endala okuvumirira obulumbaganyi obukolebwa ku bagwira mu ggwanga lya South Africa.

Omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga,omumyuka we Jacob Oulanyah n’ababaka bonna bavumiridde ekikolwa ky’abannasi ba South Africa eky’obusosoze.

Amyuka omukubiriza wolukiiko lweggwanga olukulu Oulanyah mu lutuula lwa palamenti olwaleero mwasabidde gavumenti ya South Africa okubaako kyekola ku mbeera eno.

Ate ababaka okubadde Ibrahim Ssemujju Nganda nga ye mubaka wa Kiira Municipality nowa  Butambala County Mohamad Kivumbi basabye minisita w’ensonga ez’ebweru w’eggwanga okuvaayo anyonyole eggwanga ku mbeera ya bannauganda abali mu South Africa.

Ng’ebyo bikyali bityo ladiyo ezimu mu ggwanga lya Zambia baweze enyimba za ba-South Africa wakati mukulaga obutali bumativi bwabwe eri obulumbaganyi obuli mu ggwanga lya South Africa.

Gavumenti ya South Africa egaddewo ekitebe kyayo mu kibuga Abuja ekya Nigeria.

Kino kikoleddwa oluvanyuma lw’abannansi mu ggwanga eryo, okulumba aba-south africa, okubesasuza olw’okukuba n’okunyagulula amadduuka g’abagwira.

 

Leave a comment

0.0/5