Skip to content Skip to footer

abagambibwa okugezako okutta Gen Katumba 4 bakwatibwa

Bya Juliet Nalwooga

Abébyokwerinda baliko abantu 4 bebagombyemu obwala ku bigambibwa nti benyigira mu kwagala okutemula munnamaggye General Katumba Wamala, akavuvungano omwafiira muwalawe Brenda Nanyonjo ne derevawe Haruna Kayondo.

Major General Paul Lokech amyuka ssabapoliisi ategezeeza bannamawulire nti bano okukwatibwa kidiridde okufuna amawulire agavirideko okukwatibwa kwa Muhammad Kagugube aka Bafumoya eyakunyizibwa nakkiriza nti yomu ku balinnya gen Katumba akagere okuva mu makage.

Ono era yeyalonkomye ne munne omulala bwebaali ategerekese nga Walusimbi Kamada aka Mudinka ngo kigambibwa nti yeyavuga abatemu okuli Kanaabe, okuyita mu bitundu bye Kisota-Kisaasi-Bukoto okutuuka ku luguudo lwa Sebagala road, awakolebwa obulumbaganyi.

Abakwate abalala kuliko Sirimani Kisambira KISAMBIRA aka Mukwasi, Hussein Lutwama aka Master, Ramadan Mustafa Kawawa aka Amin Musa.

Leave a comment

0.0/5