Skip to content Skip to footer

Abagambibwa okwagala okutta Katumba Badizidwayo ku alimanda

Bya Ruth Anderah

Abantu 8 agambibwa okuba nti bebaali emabega wokwagala okumiza Gen Katumba Wamala omusu badizidwayo ku alimanda mu komera ekitalya.

Kinnajukirwa nti mu bulumbaganyi buno muwala wa Katumba ne derevawe bakubwa amaasi agabagya mu budde.

Omunaana bano bwebalabiseeko mu kkooti ye Nakawa mu kmpala wansi womulamuzi owéddaala erisooka Posiano Odwori abalagidde okudda kwalimanda okutuusa nga August 17th 2021 lwebalidda mu kkooti okumanya okunonyereza mu musango gwabwe wekutuuse.

Kino kidiridde oludda oluwaabi nga lukulembedwamu Barbra Kyomugisha okutegeeza kkooti nti okunonyereza mu musango guno kuwedde wabula nasaba ayongerweyo obudde bategeke obujjulizi bwa poliisi

Bano bavunanibwa emisango okuli ogwobutemu, okugezako okutta nobutujju

Leave a comment

0.0/5