Bya Ivan Ssenabulya
Omulabirizi wa Mukono Dicoese James William Ssebaggala ajjukizza abakulembeze nti obuyinza buva eri Katonda, era nabalabula ku kugendanga mu masabo.
Bino yabyogeredde ku kkanisa ya St Philips Kayini e Bukoba ku kweyatereddeko abaana 66 emikono.
Agambye nti Katonda yawa obukulembeze era emikisa balina kujinoonya mu makanaisa ssi mu masabo.