By Prossy Kisakye, Abatuuze b’e Lusanja abagobedwa ku ttaka lye babadde bagugulana n’omuggaga medard kiconco, batisatiisiza okusituka entwala zaabwe bazikube mu maka g’omukulembeze w’eggwanga nga bagamba nti bbo tebalina budukiro.
Kino kidiridde olunaku lw’eggulo Ekkooti enkulu mu Kampala okulagira abatuuze be Lusanja okwamuka ettaka kwe batudde mu nnaku 30 zokka oluvanyuma lw’obujulizi okutegeza nti baliliko mu bukyamu
Omulamuzi Taddeo Asiimwe mu kuwa ensala ye yagambye nti Kiconco ettaka yaligula mu butuufu okuva ku Paul Katabaazi Bitabareho.
Omusasi waffe atukiridde abamu ku batuuze abakosedwa n’okusalawo kw’omulamuzi nga bakulembedwamu Jordan Atuhairwe ne bategeeza nti bbo tebalina waakuda wabula bakusitula entwala zaabwe bazikube mu maka gomukulembeze w’eggwanga yanalaba wanabatwala