KAMAPALA
Bya Damalie Mukhaye
Abajaasi be gye lye gwanga erya UPDF 1,450 basimbuddwa omuddumizi we gye lye gwanga, Gen David Muhoozi ku ttenedekero lye Singo mu district ye Nakaseke okwolekera ekibuga Mogadishu mu gwanga lya Somalia, nate okukuuma emirembe.
Bwabadde asibla abakuuma ddembe bano, Gen Muhoozi okukuuma empisa yaabwe ate bamanye bulungi ne ddimu eribolekedde.
Abalagidde, okukola emirimu nobukugu, ate bawanike bendera ye gwanga lya Uganda wonna.
Bano era bajjukiziddwa neismbi ezibasasulwa okuzikozesa obulungi.