Skip to content Skip to footer

Abakugu balabudde kukya Museveni obutavuganyizibwa

Bya Kyeyune Moses ne Ivan Ssenabulya

Abakugu era abataputa ensonga zebyobufuzi baanukudde ku babaka ba NRM, abasazeewo awaatabadde kwesalamu nti ssentebbe wekibiina era omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni addemu avuganye ku bukulembeze bwe gwanga mu 2021, nga tavuganyiziddwa munda mu kibiina.

Kino wabula bagamba nti katyabaga eri egwanga ne ssemateeka we gwanga.

Bwabadde ayogerako naffe Siraja Kifampa agambye nti kino tekibadde kyewuunyo, wabula kyongera okulaga ebiseera bya Uganda ebyomu maaso gyebitibidde mu kizikiza.

Ono alagudde nti abakulembeze abanajja mu maaso, kijja kuba kizbu okussa ekitiibwa mu ssemateeka, olwekyokulabirako presidenti Museveni kyataddewo.

Ate munna FDC Rtd Col Dr Kiiza Besigye asabye abantu nti tebagwamu ssuubi, eryokulaba ku Uganda etalina Museveni, ngomukulembeze we gwanga.

Besigye abadde ayogerako naffe ngayanukula ku kyasaliddwawo akabondo kababaka ba NRM, Presidenti Museveni nate okuddamu okwesimbawo nga talina amwesimbyeko munda mu kibiina mu 2021.

Kati Besigye agambye nti ebiseera bya Museveni okwewangamya mu buyinza, birabika nga biweddeko.

Mu bigambo bye agambye nti bann-Uganda basubire nti akakonge oba akululu ka 2021, tekabeeko musajja gwebayita Museveni.

Leave a comment

0.0/5