Bya Ivan Ssenabulya
Gavumenti ewabuddwa nti bategekeyo, omusomo okubangula abayizi nabasomesa, ng’okusoma okwawamu tekunatandika.
Olwaleero abayizi abali mu bibiina ebidirira ebisembayo, bagenda kuddamu okusoma, oluvanyuma lwebbang nga bali waka, okuva amsomero lwegagalwa omwaka oguwedde.
Bwabadde ayogerako naffe, ssenkulu wekitongole kya A-Z Professional Counselling and Support Centre Ali Male alaze obwetaavu okutekateeka abasomesa nabayizi, kubanga bayise mu bingi, ebiyinza okuba nga byakosa obwongo bwabwe.
Omusomo guno agambye nti gusaanye gulubirire okutekateeka obwongo bwabwe.