Bya Gertrude Mutyaba
Abakungu ba District ye Sembabule babiri bakwatiddwa poliisi wakati mu kunonyereza palamenti kweriko okwokubulankanya kwensimbi.
Charles Musinguzi akulira eby’ensimbi e Sembabule n’akola nga engineer, Denis Sekitoleko bebakwatiddwa oluvannyuma lw’okulemwa okulaga ensasaanya y’obukadde 312 ezaali ez’okuddaabiriza enguudo.
Bano babadde balabiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola ensimbi mu gavumenti ez’ebitundu ku Ssaza e Masaka nga bombi batunudde ebikalu ate nebasangula nga bwezikala.
Sentebe wakakiiko omubaka Reagan Okumu abalagidde bombi bajibweko statements, n’okulagira eyali engineer we Sembabule wabula Godfrey Kirunguda akakibwe okuzza ensimbi ezigambibwa nti yazibulankanya.
Omubaka we Ssaza lye Mawogola Joseph Sekabiito ng naye atauula ku kakiiko kano, ategeezeza nti wandyesanga nga waliwo bannabyabufuzi abeekobaana nebabulankanya ensimbi ezo.
Akakiiko kakyagenda mu maaso.