Bya Juliet Nalwoga, akakiiko akalwanyisa okusasana kw’ebifananyi bw’obuseegu kagamba nti tekagala kukangavula balina omuze guno wabula bakukikola singa kinaaba kyetaagisa.
Omu kubatuula ku kakiiko kano Ali wasswa alaze obwetaavu obw’okwongera okusomesa bannauganda ku bibi ebiva mu muze guno kuba abawambibwa omuze guno batwala emyaka mingi mu kubudabudibwa okusobola okudda engulu.
Ono agamba nti amaka agamenyesemenyese ensangi zino nokweyongera kwebikolwa eby’okwegadanga ky’ekivirideko omuze guno okweyongera.