Bya Ruth Anderah
Kooti etaputa ssemateeke eronze ekibinja kyabalamuzi 5 abagenda okuwulira omusango gwabantu abawakanya ekyokujja ekomo ku myaka gyomukulemebeze we gwanga.
Abalamuzi abalondeddwa kuliko amyuka ssabalamuzi Alfonse Owiny Dollo, Remmy Kasule, Elizabeth Musoke, Kenneth Kakuru ne Cheborion Barishaki.
Wabula era basazeewo okukyusa olunaku oluibadde lugenda okutandika okuwulirirako omusango guno, okuva nga 4th April okudda ku lunnaku lwa 9th April 2018, nga kitegezeddwa nti lwelugenda okwanguyira abantu bonna.
Ku nsonga yekifo okubeera wala, omulamuzi Dollo agambye nti tekimenya mateeka, ngabagamba nti wala tebalina nsonga.
Kinajukirwa nti abatuuse okwemulugunya kwabwe mu kooti nga kuno kuliko banamateeka aba Uganda Law society, ababaka abavuganya gavumenti ne munna-Uganda owabulijjo Male Mabirizi.
Bano bawakanye engeri ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga gyelyajjibwa ku ssemateeka.