Bya Shamim Nateebwa, abantu abalina akawuka akasasanya ekirwadde kya mukenenya bakubirizidwa okw’ekolamu ebibiina gavumenti esobole okubayamba.
Dr. Jane Mulemwa, omu kubaatandikawo ekibiina ekikwatizako abalwadde basirimu ki Aids Support Organisation bano abasabye baleme kwekubagiza olw’embeera y’obulamu bwabwe wabula bakole nyo okwegobako obwavu.
Ono agamba nti kino kya kuyambako okuwangaaza ku bulamu bwabwe n’okukendeza ku bafa olw’embeera embi
Okusinzira ku minisitule y’eby’obulamu mu ggwanga omuwendo gw’abantu abalina akawuka wakati w’emyakla 15-64 guli ku 6.2%
Mungeriyemu okunonyereza kulaga nti abakyala b’omu bibuga be basinga okuba n’akawuka nga bali 9.8% songa ate ab’omu byalo bali 6.7%.