Bya Mike Sebalu,
Omwendo gwábantu abafiiridde mu bifunfugu gulinnye nga kati baweze 15, oluvanyuma lwéttaka okubumbulukuka mu kiro ekikeesezza leero mu district yé Kasese olwa namutikwa wénkuba afudembye.
Abantu abalala 6 baddusiddwa mu dwaliro nga biwala ttaka ate nga nómuwendo omulala ogutamanyiddwa negyebuli eno tegunnamayikako mayitire.
Omwogezi wa Redcross Irene Nakasiita atubuulidde nti ku milambo egiziikuddwa abasing baana baton a bakyaala.
Bino byonna bibadde ku kyaalo Kasika, mu gombolola y’e Rukoki mu district eye Kasese.