Skip to content Skip to footer

Abantu 30 balumizidwa silingi bweyiise ku kizimbe okuli Fidodido

Damali Muhkaye,

Abantu abasoba mu 30 badusibwa mu ddwaliro nga biwala ttaka oluvanyuma lwa silingi yekizimbe okutte Fido Dido okwabika ne yiika.

Abasinze okukosebwa babadde balokole abe kanisa ya pastor Isaac Kiweewesi ababadde bakunganye okusaba lunch hour mu kifo kino

Okusinzira Nkuubi Kenneth,omu kubasuubuzi abakolera ku kizimbe kino agambye nti waliwo makanika abadde awalapye waggulu mu silingi okutereeza amasanyalaze agabadde gafunye obuzibu wabula okomyewo nayo

Abakungu okuva mu kitongole ekidukanya ekibuga kampala ki Kampala Capital City Authority (KCCA) batuuse awagudde enjege eno ne balagira abalina abadduka ku kizimbe okugaggala

Vylley Agaba, avunanyizibwa ku byenzimba agambye nti ekizimbe kikadde nyo era tekyetaagisa bantu ku kiberamu.

Leave a comment

0.0/5