Bya Gertrude Mutyaba
Polisi yoku mazzi ebakanye n’omuyiggo ku bantu 5 abatanalabwako, oluvanyula lwelyato kwebabadde okubbira mu mazzi ku Nyanja Nalubaale.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu bitundu bye Masaka, Lamecka Kigozi akabenje kano kaagudde okumpi nomwalo gwe Nkese mu district ye Kalangala, ngabantu 10 bebabadde ku lyato lino.
Bano babadde bava ku mwalo gwe Bukasa nga kigambibwa nti babadde badda mu district ye Mukono nga batisse amanda, wabula eryato neritomera olwazi.
Akabenje kano kaguddewo olwaleero bwebubadde busasaana, abamu nebatasibwa, ate abalala tebanalwako.