Skip to content Skip to footer

Abantu 500 bebatasiddwa okukukusibwa

Bya Juliet Nalwooga

Amyuka akulire ekitongole ekirwanyisa okukukusa abantu wansi wa minisitule yebyenjigiriza nemizannyo Agnes Igoye ategezezza ga bwebaliko abantu 500 bebanunudde ababadde bagenda okukusibwa.

Abantu bano baatasiddwa, wakati wa January ku ntandikwa yomwaka guno ne Sebutemba 2021.

Gyo emisango awamu 250 gyegyafunika eri ekitongole kino.

Bino webijidde, nga waliwo banansi ba Eritrea 6 abanunuddwa e Jinja, babadde babongerayo mu bikolwa ebyokubakukusa.

Kati Igoye alabudde abagoba bebidduka, bewale okukozesebwa okutambuza abantu bebakukusa.

Leave a comment

0.0/5