Bya Paul Adude.
Abatuuze be Kitubulu wano e Katabi bagudemu ekyekango, bwebagudde ku omulambo gw’omusajja ategerekese nga Ekisaferi Mutege omutuuze Kajjansi nga guteyengera ku mazzi
Twogedeko ne Katokoozi Mugambwa nga ono y’akulira okunonyereza kubuzzi bw’emisango e Ntebe nagamba nti baafunye okubagulizibwako okuva eri abatuuze, baagenza okutuuka nga omulambo gukyali mu mazzi.
Mungeri yeemu n’abatuuze be Kasenyi nabo era baguude ku mulambo gw’omusajja atenategerekeka nga ono naye asangiddwa ku mazzi nga ateyenga.
Okunonyereza kwa police okusooka kulaze nga ono bwayagudde mu maazi bweyabadde agenze okuvuba.
Ye akulira police ye Entebbe Joseph Batte akakasizza ebibadewo.