Bya Samuel ssebuliba.
Polisi wano e Kampala ekutte abasajja babiri nga bano kigambibwa nti babade bakafulu mukyusa serial number z’amasimu gebabye.
Abakwatiddwa babade n’obukugu obukyusa enamba emanyiddwa nga ‘’International Mobile Equipment Identity, kyoka nga eno gyebansiirako okulondoola esimu eba ebuze.
Ayogerera police ye kampala Luke Owoyesigyire agamba nti baludde nga bayigga abantu bano okutuusa lwebabakutte.
Bano bakirizza nti babade baakola endagaano n’abakwakula amasimu kubantu, era nga babawaako ebitundu 23% kubuli simu gyebakyusa.