Bya Magembe Sabiiti.
E Mubende ab’obuyinza mu South division bayisizza eteeka eriwera abasawo be kinansi bona mu kitundu kino.
Mayor wa division eno Kasigazi Beatrice agamba nti abantu bangi babbiddwako ensimbi zabwe nga basubizibwa obugaga kyagamba kirina okukoma.
Ono agamba nti era abasawo bano y’ensonga evudeko ebikolwa eby’okutibwa kw’abantu okweyongera mu kitundu kino.
Kati ono akalatidde ba ssentebe be byalo obutakemebwa kujja nsimbi ku bantu bano, nga babalimbalimba okubakuuma.