Bya Samuel Ssebuliba.
Police wano mu Kampala ekutte abantu 3 nga bano kigambibwa nti bebaabade emabega w’obubi bwa bodaboda obweyongedde ko n’obutemu
Bano okukwatibwa kidiridde okutibwa kw’omuvubuka Wellaci Makumbi nga ono baamukuba masasi ne bodabodaye netwalibwa.
Omu kubakwatiddwa ategezeza police nti yeeyakuba omuvubuka ono esasi ely’amutta wabula nga waliwo omulala amanyiddwa nga Hassan eyamutuma
Ayogerera police mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire agambye nti basobodde okuzuula emundu, ko ne bodaboda eyabadde ebiddwa