Bya Ivan Ssenabulya
Ekibiina ekigatta abategesi b’ebivvulu nab’ebifo ebisanyukirwamu, Uganda Music Promoters and Venue Owners Network, batandise omuyiggo ku eyategeka ekivvulu e Mpatta mu district ye Mukono, omwafiridde omuntu.
Ekivvulu kino kyaliwo ku Sunday wabula kyagwera mu kulwanagana, abawagizi bwebava mu mbeera oluvanyuma lwabayimbi bebalanga obutajja nebonoona ebintu.
Wabula poliisi mu kukakanya embeera yakuba amasasi akanyolagano akafiramu omuntu omu.
Kati Tonny Ssempijja omukwanaganya w’emirmu gyekibiina agambye nti betaaga okumanya baani abaali bategese ekivvulu kino.
Ono ategezezza nga bwebategese olukiiko, nga lugenda kutuula e Mpatta ku Sunday eno okwongera okubaako byebatereeza nokunoonya abaali batgese ekivvulu mu kitundu kino.
Mungeri yeemu poliisi eyisizza amateeka agagenda okugobererwa ku mu kivvulu kya Nyege Nyege cultural festival ekigenda okutandika nga 8th Sbutemba 2019 Nile Discovery Beach mu munispaali ye Njeru mu district ye Buikwe.
Omumyuka womwogezi wa poliisi Polly Namaye agambye nti bakanyizza nabategesi, nti ebikujjuko bino, ate tebifuuka lukungaana lwabyabufuzi.
Abategesi era balagiddwa okukakasa nti buli ayingira muntu mukulu, obutakirizaayo baana abatanetuuka.
Ebikolwa ebiralala ng’okunywa ebiragalalagala n’ebisiyaga biganiddwa.