Skip to content Skip to footer

Abatembeeyi bagala kcca ebakendereze ku zaliyisinsi

Bya Prossy Kisakye, Abatembeeyi b’okunguuddo z’omu Kampala olunaku olw’aleero basisinkanye loodi meeya wa kampala okuwaayo endowooza zaabwe ku bbago ry’etteeka eribakwatako.

Ebimu ku biri mu bbago lino erya Kampala capital city regulation of street trade ordinance, abatembeeyi bakuweebwa licence ezibakkiriza okukolera mu kampala, bakwambalanga uniform, okusasula omuteemwa singa licence eba eyononese ne birala.

Bano bagala emiwendo gya licence gikendezebweko, bagala webaweebwa ebifo ate waleme kubaawo muntu yenna abasengula

Ye loodi meeya wa kampala erias Lukwago agamba nti ekigendererwa mu bbago lino kwekutaasa abatembeeyi ababadde batulugunyizibwa abasilikale ba kcca, newankubadde nga abaamu babadde babataputa bubi

 

Leave a comment

0.0/5