Skip to content Skip to footer

Abavuganya gavumenti basse omukago

Bya Prosy Kisakye

Ab’oludda oluvuganya gavumenti mu gwanga basabiddwa okwegatta awamu bwebanaaba bakutwala obuyinza mu 2021.

Omulanga guno gukubiddwa eyavuganyako ku bukulembeze bwe gwanga Samuel Walter Lubega Mukaaku, ku mukolo gwebibiina okuteeka omukono ku ndagaano, mu kyebatuumye DP block.

Eno ebibiina okuli DP, Social Democratic Party, PDP ne JEEMA baakuteeka omukono ku ndagaano, mu bwegassi buno.

Omukolo guno gwetabiddwako banabyabufuzi abawerako ku ludda oluvuganya gavumenti, okuli akulira People Power omubaka Kyagulanyi Ssentamu, eyali ssenkagale wa DP Paul Kawanga SSemwogere, presidenti wa Alliance for National Transformation Gen Mugisha Muntu, ababaka ba palamenti nabalala.

Obwegassi buno buvugidde ku mubala, ‘okwegattab lye kkubo lyokka’

Leave a comment

0.0/5