Bya Prossy Kisakye, Abazadde balabuddwa okwerinda ebintu ebicuupule ku katale mu biseera bino eby’okuza abaana ku masomero kubanga by’ebisinga obungi nga ku buli 100 ebitundu 50 bicuupuli.
Akulira ekibiina omwegatira abasuubuzi b’omu Kampala ekya Kacita Everest Kayondo alabudde abazadde okwerinda abatembeeyi n’abatundira ku kkubo kubanga bakwata kisooka mu kutunda ebintu ebitatuukana namutindo.
Ono agamba nti abazadde basanye bagule ebintu mu kifo ekitegekeddwa obulungi okusobola okulondola ebintu ebibeera bibaguziddwa singa bibeera bicuupuli nga beyambisa aba KACIITA.