Skip to content Skip to footer

Abazadde bekandazze lwakugoba baana baabwe

Bya Abubaker Kirunda

Abazadde ku ssomero lya Buyengo P/S e Jinja bavudde mu mbeera olwabakulu bessomero lino, okugoba abaana baabwe abakomyewo nga tebaleese kasooli.

Eno eteeka lyayita abazadde okuwa abaana kasooli bakubemu akawunga kebalya ku ssomero.

Wabula abazadde nga bakulembeddwamu ssentebbe wekyalo Budumbul-Buyengo nga ye Mande Balyejusa bawakanyizza ekyokugobaganya abaana atenga baanyi buungi nti embeera yebyenfuna tebadde nnungi.

Ebyetaago ebirala ebigobezza abayizi kuliko uniform ne mask.

Bagamba nti omukulu wessomero Florence Kalemiro yayanguye okugoba abaana, songa kigenda kubaberera kizibu okubazza ku masomero, kubanga babadde eyo mu munsi emyaka 2 ngamasomero maggale.

Yye omukulu wessomero agambye nti kizibu gyebali okuddukanya essomero, nga tebalina bikozesebwa nokutangira obulwadde.

Leave a comment

0.0/5