Skip to content Skip to footer

Abdallah Kitatta bamusindise mu kooti y’amagye

Bya Ruth Anderah

Ssentebbe wekibiina kya NRM mu gombolola ye Rubaga Abdallah Kitata avunanaiddwa era nasindikibwa mu kooti yamagye gyanawozesabwa.

Akakaiiko kamagye akakwasisa empisa akatuddw e Mbuya, kasindise Abudallah Kitata era ssentebbe wa Boda-boda 2010 ne banne abalala 12 mu kooti yamagye.

Bano bavunanibwa emisango okuli okusangibwa nebyokulwanyisa nebintu bya gavumentu wabula mu bukyamu.

Abavunananwa babadde tebasobola kwanukula ku misango ejibasomeddwa kubanga kizuuse nti akakiiko tekalina buyinza kuwulira misango nga jino, okujjako kooti yennyini.

abavunanwa balabiseeko mu maaso ga Col.  Kayemba sswentebbe wakakiiko, ngoluvanyuma abasindise mu kkomera lye Kigo okutuusa lwebanaletebwa mu kooti yamagye etuula e Makindye.

Leave a comment

0.0/5