Bya Ritah Kemigisa.
Abasomesa ku tendekro ekulu ely’e Makerere bavudeyo nebavumirira ekya government okuteeka ensimbi enyingi mu by’okwebuuza ku by’ebago lyeteeka ku myaka gy’omukulembeze we gwanga,nga bagamba nti kuno kudiibuda.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire, akulira ekibiine ekitaba abasomesa bano Dr. Muhammad Kigundu agambye nti egwange terinatuuka mu katuubagiro ka ssemateeka, kale nga okupapa, kko n’okwonona ensimbi z’omuwi w’omusolo tekikola makulu.
Ono agamba nti mukaseera kano abakwatibwako ensonga bagwana kutuula bogere ku nsonga zino, sosi kwewerekera bagenda mu bantu.
Amakya ga leero tukitegedeko nti akakiiko ka paraliment akakola ku byamateeka kakukozesa ensimbi obukadde 700 okwebuuza kubanna-uganda ku nsonga eno.
