Bya Ritah Kemigisa
Gavumenti egamba nti yandisalwo okukola okunonyereza nokwkenneya akabi akali mu ddagala lya ssenyiga omukambwe erya AstraZeneca, eri abantu abalikozesezza nga tebatekeddwa.
Bino webijidde ngabantu abamu mu Uganda okuli nabaana abali wansi wemyaka 18 bagemeddwa waddenga gavumenti yali eragidde nti abakadde nabakuze mu myaka bebaba bazooka okugemebwa.
Dr Alfred Driwale, akulira ebyokugema ku Uganda National Extended Program on Immunisation alabudde nti abegemye nga tebatekeddwa bandiba nga betadde mu kabi bennyini.
Kati abantu bano bawabuddwa nti beyanjule eri minisitule yebyobulamu ssinga babeera bafunye obuzbi bwonna.
Mungeri yeemu gavumenti esabiddwa nti bateeka ku mwanjo ba nakabutuzi, mu ntekateeka zokugema ssenyiga omukambwe COVID-19.
Okusaba kuno kukoleddwa Dr Sabrina Kitaka, omusawo omukugu ku ddwaliro ekkkulu e Mulago.
Dr Sabrina agambye nti kizuliiddwa bangi kuba maama abembuto batandise okufa COVID-19.
Dr Sabrina era agambye nti abantu batekeddwa okukomya okubusabuusa eddagala lya AstraZeneca nagamba nti ebirungi nobukuumi bweriwa abagemeddwa, magero bwogerageranya ku bibi byalyo.
Okunonyereza okwakoleddwa abekitongole kya Twaweza Uganda kwalaze nti abantu mu Kampala 19% tebesiga ddagala erikozesebwa mu kugema.
Kati Dr. Sabrina alabudde nti abantu abafa ssenyiga omukambwe, omuwendo gwandirinnya okutuuka ku bantu 2,000 kalenga bannaYuganda tebasaanye kubalatira mu nsonga.