Skip to content Skip to footer

Ab’oluganda basse muganda waabwe

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi ye Rubanda eriko abantu 3 begalidde nga kigambibwa nti bakidde muganda bwaabwe nebamutta.

Omugenzi ye Asiimwe Kenneth owemyaka 24 omutuuze ku kyalo Bugandaru mu gombolola ye Bufundi, nga kigambibw anti baganda be bamukakanyeko nebamukuba ewaka waabwe nebamutta, wabula ku nsonga etanaba kutegerekeka.

Okusinziira ku poliisi abakwate kuliko Frank Ahereza, Tuweheyo Medard ne Tumuheirwe Phoebe nga kigambibwanti oluvanyuma lwokumutta, bamulongosezza nebamutwala mu buliri, balowozese abantu nti yafudde enfa eyabulijjo.

Wabula ayogerera poliisi mu Kigezi Eli Matte agambye nti omulambo bagusanzeeko ebiwundu ebyamaanyi nga guvaamu nomusaayi, nayenga bakyanoneyereza.

Leave a comment

0.0/5