Bya Shamim Nateebwa
Omuvubuka afumise muganda we ekiso n’mutta oluvanyuma lwokumutebereza nti abade asinda omukwano ne mukyala we.
Okusinziira ku Pamera Achan owemyaka 23 agamba omwami we Edward Kyakuwa, omutuuze w’e Kazo Angola mu division ye Kawempe yakomyewo awaka namusanga nga banyumya ne Ben omugenzi kati wabula ye natandiika okubakuba ngabalumiriza okubasanga nga basinda omukwano mu buliri.
Agamba abadduukirize bebatutte Ben mu ddwaaliro e Mulago oluvanyuma gyasirizza ogwenkomerero.
Achan akyajjanjabibwa mu dwaaliro e Mulago oluvannyuma l’okufuna ebisago ku mutwe neku Mukono mu lutalo olwabaddewo.
Abasattu bano bonnababadde babeera mu maka ga bakadde baabwe, abakolera ebweru w’egwanga.
Akulira bambega ba poliisi e Kawempe ategerekeseko elya Obongo akakasizza okukwatibwa kwa Eddy nategeeza nga bwakyakumirwa ku poliisi ye Kawempe, ngagguddwako omusango gwa butemu.