Skip to content Skip to footer

Agamabibwa okukulira abawamba abaana akwatiddwa

Bya Juliet Nalwooga ne Ritah Kemigisa

Poliisi ekakasizza okukwatibwa kwomusajja, eyalabikidde mu katambi kamawulire, agakolebwa aba BBC akulira olujegere lwabanatu baabaddenga bakukusa abantu.

Kamisona Asan Kasingye, akulira poliisi n’omuntu wabulijjo agambye nti omukwate ategerekese nga ye Yunus, bamaukwatidde ku nsalo ya Uganda ne South Sudan mu kitundu kye’Elegu.

Akatambi kano kasasanye ku mitimbagano wiiki eno, wabulanga kigambibwa nti aba BBC amauwlire gano baagakola mu mwaka gwa 2011.

Mu katambi kano, omusajja Yunus yategeeza mungeri yokwewaal nti alina abaana abamala okutunda, nga buli buguzi ku mwana asasaulwa £ 10,000.

Kinjjukirwa nti mu August w’omwaka oguwedde, abalamuzi bannaYuganda 2 okuli Moses Mukiibi ne Wilson Musalu Musene, saako bannamateeka Dorah Mirembe ne Patrick Ecobu bayitibwa ekitongole kya US State Department okwenyoinyolako.

Bano kigambibwa nti balya ekyoja mumiro mu musango ogugambibwa okwetobekamu ekiwamba nekikukusa bantu.

Mungeri yeemu, omwogezi wekitongole kyaba mebga Charles Twine ategezezza nga bwebaliko omwana omulenzi owennaku 10 gwebanunudde eyabadde awambiddwa.

Twine agambye nti omulenzi ono, babadde bamubba okuva ku maama we mu kanisa ya Pastor Tom e Mutundwe nga 5 May, wabula baamusanze mu disitulikiti ye Mubende.

Agambye nti baamukutte nebamukomyawo e Kampala okutekateeka omusango gwe, avunanibvwe.

Wabula ekigendererwa kye tekinamanyika.

Alipoota ya poliisi ekwata ku bumenyi bwamateeka, eyomwaka oguwedde 2020, yalaga nti waaliwo okweyongera 30% mu misango gyekiwamba nekibba baana.

Mu 2019 gyali emisango 159, wabula mu 2020 gyayongedde okuwera emisango 207.

Leave a comment

0.0/5