Bya Moses Kyeyune

Akakiiko ka palamenti akebyensimbi olwaleero kagenda kutuula, nga kasubirwa okutunula mu mateeka gomusolo gavumenti geyagala okuleeta, mu mbalirira yomwaka gwensimbi ogujja 2018/19.
Ku ntandikwa yomwaka guno gavumenti yaleeta okusaba okukola ennongosereza mu mateeka gomusolo, Finance (amendment) Bill, 2018, Income Tax Bill 2018, Value Added Tax Bill 2018, Excise Duty Tax 2018 ne Stamp Duty Tax, Bill 2018.
Minister owebyensimbi Matia Kasaija ne munne avunayizibwa ku kutegekera egwanga David Bahati, basubirwa okulabikako eri akakiiko, akakubirizibwa omubaka wa Rubanda East, Henry Musasizi.