Bya Shamim Nateebwa.
Obwakabaka bwa Buganda butegeezeza nga amasiro ge Kasubi bwegagenda okuggwa obutasuka mwaka gwa 2019.
Bino byogeddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, bwabadde agenze okulambulako omulimo gw’okuzimba amasiro gano wegutuuse.
Ono agambye nti kati omulimo wegutuuse guzaamu amaanyi, era nga obukakafu webuli nti obutasukka mwaka gujja enju eno eya Muzibu azaala mpanga ejjakuba ewedde.
Ono agambye nti situgaanye yali asuubizza nti omulimo gwakuggwa mu 2018, naye omulimu gwafunamu okusomooza naddala mu kusereka.