Bya Malik Fahad.
EBukomansimbi waliwo amasomero 12 agagaddwa , nga gano gano kigambibwa nti tegalina bisanyizo.
Amasomero agagaddwa kuliko St John Misenyi, Kyakamunya primary school, St Kizito Primary School, ko ne Aunt Marry primary school ko n’amalala.
Twogedeko ne Fred Mutebi nga ono yakulira okulambula amasomero mu bitundu bino n’agamba nti bano baludde ebanga nga babalabula , kyoka nga babiyita bya lusaago, kati leero kwekukeera okubaggala.
Bano okusinga tebabade na kaabuyonjo,abasomesa abatenedeke, kko nebirara.