Skip to content Skip to footer

Amawulire ku mukenenya gatandise okuwudiisa abasajja.

Bya Ndaye Moses.

Minister omubeezi akola ku by’obulamu Sarah Opendi ategeezeza nga obubaka obusasanyizibwa ku byamukenenya ate bwebuyinza okuviirako mukenenya okweyongera.

Bwabadde ayogera n’abakola ogw’okulwanyisa mukenenya abakunganidde wano mu Kampala, minister agambye nti waliwo abalimba abasajja nti bwebagenda nebakomolebwa bagenda kuba tebakwatibwa mukenenya, kyagamba nti kikyamu ate nga kyabulabe.

Ono agamba nti okukomolwa kikendeeza ekirwadde kino nebitundu 60% kale nga bonna abeesiga bino bagenda kuggwa mu mitawana

 

Leave a comment

0.0/5