Skip to content Skip to footer

Amazzi kwekusomozebwa okusinga mu Buganda

Bya Shamim Nateebwa

Okusomozebwa okukyasinze era okulemesezza enkulakulana mu Buganda gemazzi amayonjo.

Bwabadde ayogera ne banmwulire, ngafulumya alipoota eyakoleddwa ku masaza okuli Buluuli, Kooki ne Mawogoola ekitongole kya Wells of Life, ekitongole kyobwanakyewa okuva mu America Kamalabyonna wa Buganda agambye nti abantu ba Ssabasajja bangi tebalina mazzi mayonjo, ngabsinga bakozesa ga bidiba.

Ategezeza nti abaana nabakyala bataindigga engendo okukima amazzi, nga nabamu bagagabana nensolo, kyagambye nti kizingamya enkulakulana.

Obwakabaka bwa Buganda bwatadde omukono ku ndagaano nekitongole kya Wells of Life,okutuusa amzzi e Kooki, Buluuli ne Mawogola, okugonjoola ekizbu kye bbulya lyamazzi.

Leave a comment

0.0/5